Emivuyo Mukulonda:NRM

Abalonzi mu kibiina kya NRM awamu n’abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo mu district ye Kyenjojo balabudde abatwala eby’okulonda mu kitundu kino olw’okujamu amaanya gaabwe mu register y’ekibiina ate nga ne nkalala zábalonzi ezimu ezawerezeddwa ku byalo za bitundu bilala ekigenda okuvirako okulonda kuno obutabera kw’amazima na bwenkanya.

Emivuyo gino gisinze kulabikira mu Ssaza lya Mwenge North ng’eno ezimu ku register ezabaweereddwa zajiddwa mu Ssaza lya Mwenge South, songa n’ebyalo ebisinga obungi amaanya g’abalonzi gajidwamu ekiresewo okutya mu balonzi.

Ssentebe wa NRM atwala ekitundu kya Greater Nyankwanzi Emmanuel Twinomuhangi ategezezza nga emivuyo mu nkalala zábalonzi bwegisusse mu kitundu kino

Omu kubesimbyewo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Mwenge North, Muhumuza David agamba nti bangi ku bawagizi be bajiddwa mu register y’ekibiina saako okuba nga n’abamu bakubibwa emiggo nasaba ssentebe wa NRM mu ggwanga pulezident Museveni n’akulira okulonda mu NRM Dr Tanga Odoi okuyingira mu nsonga eno nga tewanabawo kuyiwa musaayi .

Akulira ebyokulonda mu kibiina kya NRM e Kyenjojo Wine Ngoobi ategezezza nga ensonga zino bwebazikolako okulaba nga akalulu kabera kamazima nabwenkanya.

Recommended For You

About the Author: admin