OMULAMBO GWA MUNNAYUGANDA EYAFIIRA KU NNYONYI NGA 14/10/2023 GUTUUKA NKYA KU BUTAKA

Evelyn Nakirya eyali mu lugendo lwe okwolekera eggwanga lya Canada, embeera y’obulamu yamutabukako mu nnyonyi ng’ali ne Muganda we Vivian.
Kino kyawaliriza omugoba w’ennyonyi okukka ku kisaawe mu ggwanga lceland omubiri gw’omugenzi gulekebwewo.
Kabadde keetalo okuva kwolwo nga mulimu n’okusonda ensi ezikomyawo omulambo okwa boobwe. Mu kiro ekikeesezza olwaleero,
bannaYuganda abawangaalira mu ggwanga lya Iceland bakubye eriiso evvannyuma ku Nakirya nga tannateekebwa ku nnyonyi kukomezebwawo kwa boobwe yeebakire eringi ayiibweko ettono.

Recommended For You

About the Author: admin